Sipiika wa Palamenti mu ggwanga lya South Africa Nosiviwe Mapisa-Nqakula aguddwako emisango 12 egy’okulya enguzi n’omusango gumu ogw’okukusa ssente oluvanyuma lw’okulekulira.

Nosiviwe myaka 67 yalekulidde ku Lunnaku Lwokusatu nga kivudde kazito okuva mu bannansi ku by’okulya enguzi.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Nosiviwe yatwaliddwa mu kkooti nga yasobodde okwetwala eri Poliisi.

Nosiviwe Mapisa-Nqakula

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Bheki Manyathi , Nosiviwe mu kiseera bwe yali minisita w’ensonga z’ebyokwerinda yasaba enguzi okuva mu kkampuni ez’enjawulo okusobola okuziwa Kontulakita okukola emirimu mu South Africa.

Nga 12, June, 2012, Pulezidenti Jacob Zuma yalonda Nosiviwe nga Minisita w’ebyokwerinda, era yali mu kifo ekyo, kumpi myaka 9.

Kigambibwa mu kiseera ekyo, yeenyigira mu kulya enguzi, ekintu ekimenya amateeka.

Mu kkooti olunnaku olw’eggulo, yegaanye emisango gyonna era amangu ddala yayimbuddwa kakalu ka kkooti.

Nosiviwe bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire, yagambye nti okulekulira tekitegeeza nti alina emisango wabula yakikoze okuwa omukisa oludda oluwaabi okunoonyereza obulungi nga tewali kiyinza kubalemesa.

Yasuubiza okweyambisa omukisa ogwo, okulaga ensi yonna nti talina musango gwonna.

Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti w’e South Africa Cyril Ramaphosa, agamba nti Nosiviwe okulekulira yakoze eky’obuzira.

Nosiviwe yalondebwa ku bwa sipiika mu 2021 era Poliisi yasobodde okwekebejja amakaage mu kibuga Johannesburg mu ngeri y’okunoonya obujjulizi.

Joel Ssenyonyi y’omu ku bantu abasanyufu!

Omwezi oguwedde ogwa March, 2024, Ssenyonyi bwe yali ayogerako eri bannamawulire ku Palamenti, yasaba ebitongole eby’enjawulo omuli Poliisi, Kalisoliiso wa gavumenti n’ebitongole ebirala okuvaayo okunoonyereza ku Palamenti y’eggwanga.

Joel Ssenyonyi

Ssenyonyi agamba nti Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among y’omu ku bantu abali mu kwenyigira mu kulya enguzi nga yeeyambisa obukodyo obw’enjawulo.

Agamba nti Sipiika Among asukkiridde okweyambisa akawunta z’abakozi be mu offiisi, okuyisaako ssente ezikola emirimu egitamanyiddwa.

Anita Annet Among

Ssenyonyi era agamba nti ssente kati ezitwalibwa ziri mu buwumbi bwa ssente, kwe kusaba ebitongole ebirwanyisa obuli bw’enguzi okuvaayo okunoonyereza mu bwangu.

Yategeeza nti sipiika wa Palamenti tali waggulu w’amateeka, ayinza n’okulekulira ku lw’obulungi bw’eggwanga.

Yasaba ebitongole bya Gavumenti okulabira ku South Africa, abali mu kunoonyereza ku sipiika Nosiviwe, nti ne Uganda kisoboka bulungi nnyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=9eneNbPgGBA