Famire z’abantu 18 abali mu kunoonya abantu baabwe, baweddemu essuubi.
Okuva 2019, waliwo abantu bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abagamba nti Gavumenti yatwala bantu baabwe era okuva olwo, bazze banoonya mu bifo eby’enjawulo.
Abamu bukya batwalibwa emyaka gitambula, abakyala n’abaana bakyasobeddwa kuba bakoze kyonna ekisoboka okuzuula abantu baabwe omuli n’okuddukira mu Palamenti.
Aba famire nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe George Musisi, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Esta Nambayo okusaba Gavumenti okuleeta abantu baabwe.
Olunnaku olw’eggulo, bazze mu kkooti nga basuubira okulaba ku bantu baabwe wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jackie Amusult lwasabye omulamuzi okwongera okubawa wiiki emu okuleeta okwewozaako kwabwe kwonna.
Omulamuzi Nambayo yayongezaayo omusango okutuusa nga 24, April, 2024.
Wadde omulamuzi Nambayo ayongezaayo omusango, munnamateeka Musisi agamba nti bafunye ebiwandiiko okuva ku ludda oluwaabi ebiraga nti abantu abanoonyezebwa tebali mikono gya Gavumenti.
Musisi agamba nti bagenda kweyambisa obujjulizi okuva mu bakulembeze omuli ebigambo bya Ssaabaminisita Robinab Nabbanja, Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga n’abalala, okulaga ensi nti ddala Gavumenti erina abantu baabwe.
Ate abafamire bagamba nti bwe kiba okweyambisa amateeka kigaanye, kati esuubi lisigadde mu Minisita omubeezi ow’abaana n’abavubuka Barugahara Balaam eyasuubiza okweyambisa enkola ey’okuteesa, okutaasa abantu baabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4p3Waj1OsN4