Abamu ku bannamawulire mu ggwanga n’okutuusa kati, bawakanya ekiragiro kya kkooti y’e Mmengo okugaana bannamawulire okukwata obutambi bw’ebifaananyi n’amaloboozi mu musango gw’okulebula omusumba Robert Kayanja.
Mu Uganda, Omusumba Kayanja yakulembera ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga mu Kampala.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jonathan Muwaganya lwasobodde okutegeeza Omulamuzi nti waliwo abantu okwetoloola ensi, abali mu kubaganya ebirowoozo ku musango ate nga gukyali mu kkooti.
Muwaganya agamba nti waliwo n’abantu abali mu kuwa ensala y’omusango nga basinzira ku ndowooza yaabwe, ekintu ekimenya amateeka.
Olw’ensonga ezo, yasobodde okusaba omulamuzi wa kkooti ento e Nateete Rubaga, Adams Byarugaba, okusaba bannamawulire obutaddamu okukwata obutambi bw’ebifaananyi n’amaloboozi.
Agamba nti newankubadde bannamawulire balina eddembe lyabwe okukwata ebigenda mu maaso mu kkooti, naye ate abamu balikozesa mu ngeri ekyamu, emenya amateeka nga waliwo obutambi bungi obuli mu kutambula ku mikutu migatta abantu obwa kkooti.
Munnamateeka Muwaganya agamba nti obutambi okweyongera okutambula, kiteeka obulamu bwabwe mu matigga nga bannamateeka abali musango ssaako n’abantu abalina okuwa obujjulizi mu kkooti.
Mu kkooti, bannamateeka b’oludda oluwawaabirwa nga bakulembeddwamu Humphrey Tumwesigye ne Bernard Mugyenyi baabadde bawakanya eky’okulemesa bannamawulire okukola emirimu gyabwe kuba balina okutegeeza eggwanga ebigenda mu maaso mu kkooti.
Tumwesigye ne Mugyenyi bakaanya nti kikyamu omuntu yenna okubaganya ebirowoozo ku musango oguli mu kkooti era agamba nti bwe kiba waliwo abantu abakikola, kimenya amateeka.
Omulamuzi Byarugaba mu kuwa ensala ye, agamba nti waliwo bannamawulire abalina ebiruubirirwa byabwe ng’abantu nga y’emu ku nsonga lwaki bakwata obutambi kyokka waliwo ababukozesa mu ngeri emenya amateeka.
Omulamuzi agamba ekyo kivuddeko n’abantu okuba enkungaana z’amawulire okwogera ku nsonga ezigenda mu maaso mu kkooti, nga basinzira ku butambi obukyamu obwavudde mu kkooti obwa bannamawulire.
Omulamuzi Byarugaba agamba nti obutambi bweyongedde okutambula ku mikutu migatta abantu nga bannayuganda bongeddemu ebyabwe, ekyongedde okutiisa abantu okugenda mu kkooti okuwa obujjulizi olw’ensonga y’ebyokwerinda byabwe.
Yawadde ekiragiro ekigaana omuntu yenna okutwala mu kkooti ekintu kyonna omuli kkamera eyinza okweyambisibwa okukwata obutambi wadde amaloboozi era yayisizza ekiragiro ekigaana omuntu yenna okuddamu okwogera ku nsonga z’omusango kuba gukyali mu kkooti.
Omulamuzi agamba nti bannamawulire mu kkooti, baddembe okweyambisa amatu okuwulira ebigenda mu maaso mu kkooti oba okuwandiika.
Mu kkooti, mulimu abavubuka omuli Moses Ssemanobe, Alex Wakamala, Martins Kagolo, Aggrey Kanene, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Labeeb Kalifah, Wasswa ne Mwada, kigambibwa beekobaana ne balumba ekkanisa y’omusumba Kayanja nga 17, September, 2021 ne bamwogerako kalebule.
Abavubuka bagamba nti Pasita Kayanja yabasobyako.
Bali mu kkooti bali mu kwewozaako era omusango guddamu nga 19, April, 2024 wabula bannamawulire balemeddeko bagamba nti okugaana okukwata obutambi mu kkooti, kityoboola eddembe lyabwe n’omulimu gwabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DMiX7AWOovs