Abantu abali 60 bebakafa guno omwezi ogwa April, 2024 nga kivudde ku mataba mu ggwanga lya Tanzania.

Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Mobhare Matinyi, abantu bangi bafudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu ffaamu ez’enjawulo.

Abantu basinze kufa mu coast region nga kigambibwa bali 11.

Wiiki ewedde ku Lwokutaano, abaana 8 baafa, bbaasi mwe baali batambulira bwe yatwalibwa amazzi mambuka ga Tanzania.

Gavumenti ewanjagidde abantu abali mu bitundu eby’obulabe, okuvaayo mu bwangu ddala kuba enkuba egenda kweyongera.

Ate okusinzira ku kibiina kya mawanga amagatte ekya United Nations, mu ggwanga lya Kenya, abantu 13 bebakafa nga kivudde ku nkuba ate abali mu 15,000 bakoseddwa nnyo era bangi basenguddwa.

Ate munnamaggye, Pulezidenti w’eggwanga erya Chad Mahamat Idriss Déby atandiise Kampeyini z’okunoonya akalulu ka Pulezidenti.

Idriss Déby ali mu kampeyini n’abantu abalala 9 mu kulonda kwa 6, May, 2024.

Mu kalulu, mulimu ne Ssaabaminisita Succès Masra.

Bwe yabadde ayogerako eri abalonzi mu kibuga N’Djamena, Idriss Déby agamba nti singa bannansi bamwesiga ku bwa Pulezidenti, agenda kukola nnyo okwongera okunyweza ebyokwerinda ne bannansi okwongera okulonda abakulembeze baabwe mu nkola ya Dimokulasiya.

Wadde Kampeyini zakatandiika, bangi ku bakulembeze ku ludda oluvuganya bagamba nti Idriss Déby singa agezaako okwenyigira mu kubba akalulu, bagenda kumutwala mu kkooti.

Yaya Dillo, eyali asuubirwa okuvuganya ennyo mu kalulu, yattibwa nga 28, February, 2024.

Idriss Déby yali asuubiza bannansi okulonda mu myezi 18 oluvanyuma lw’okukwata obuyinza amangu ddala nga kitaawe attiddwa mu 2021.

Idriss Déby Itno yattibwa nga 20, April, 2021.

Ebirala ebifa mu Uganda – https://www.youtube.com/watch?v=g6DcVE-Bbc0&t=609s