Poliisi eriko abasirikale baayo bekutte ku by’okubba ssente, obukadde obuli 20-30 ku ssente, zeyasuuziza ababbi wiiki ewedde.

Wiiki ewedde ku Lwokubiri, Poliisi yakutte ababbi wali ku Luguudo lwa Northern bypass mu bitundu bye Naalya, oluvanyuma lw’okubba ssente ku muwala Sarah Namata, eyali azitwala mu bbanka.

Kigambibwa ababbi, baasobola okulondoola Namata bwe yali atwala ssente mu bbanka okuva mu Hardware e Lungujja

Mu bitundu bye Kiwanga e Bweyogerere, Namata baamukasuka okuva mu mmotoka era amangu ddala yakuba enduulu.

Poliisi yasobola okutaasa obukadde 160 kwobo 192 ezaali zibiddwa, ababbi abaali batambulira mu mmotoka ekika kya Noah namba UBN 360N.

Omu ku babbi, yakubwa essasi ku mukono wakati mu kutegeeza abantu nti si mubbi.

Wabula Poliisi egamba nti waliwo ensobi ezaakolebwa amangu ddala nga ensawo ya ssente ezuuliddwa

– Baalemwa okubala ssente mu lujjudde, okutegeera omuwendo gwazo

– Tekimanyiddwa oba ssente okutwalibwa okuva ku kifo okutuuka ku Poliisi ya Kira oba zakwatibwamu.

– Abasirikale bagenda okwanjula ssente nga ziri mu bukadde 160, ate Namata agamba zaali obukadde 192.

– Ssente nga zituuse ku Poliisi, abasirikale mu kuzibala ate waliwo ezabula nga ziri mu bukadde 20-30.

Poliisi mu kunoonyereza, esobodde okukwata abamu ku basirikale baabwe era waliwo ssente obukadde 12 ezizuuliddwa.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu, kukyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=g6DcVE-Bbc0&t=609s