Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde bannabyabufuzi abeegatta ku NUP n’ekindererwa ky’okufuna kaadi y’ekibiina n’amasanyalaze okusobola okwesimbawo ku bifo by’obukulembeze eby’enjawulo.

Kyagulanyi agamba nti ekibiina ki NUP tekijja kukkiriza muntu yenna kwesimbawo ku tiketi y’ekibiina okuggyako nga bakakasizza nti atambulira ku nnono z’ekibiina.

Agamba nti ekibiina kitambulira ku maanyi g’abantu era omuntu yenna singa ava ku mulamwa, talina kusigala mu kibiina.

Kyagulanyi abyogeredde ku kitebe ky’ekibiina e  Makerere – Kavule gyayanirizza abantu abapya abeegasse ku NUP okuva mu nsonda ez’enjawulo omuli abavudde mu National Resistance Movement (NRM), Forum for Democratic Change (FDC), Democratic Party (DP) n’abalala.

Kyagulanyi awanjagidde bannakibiina okusigala ku mulamwa nga bewala ebintu byonna ebiyinza okubaggya ku nsonga z’abantu.

Kyagu agamba nti waliwo banaabwe abaava ku mulamwa nga kati n’okutambula, emmundu zezibakuuma olw’okutya amaanyi g’abantu.

Eddoboozi lya Bobi Wine

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OQPmpmN4GvQ