Alagidde UCC

Sipiika wa Palamenti Nnalongo Anita Among, alagidde bunambiro okunoonyereza era bakwate abantu bonna abali mu kweyambisa emitimbagano omuli Face Book, Twitter n’endala okumusiiga enziro.

Sipiika Among agamba nti abantu bonna abali mu kutambuza obulimba, tebamutegeera kati ye ssaawa, abalage yaani?

Okangula ku ddoboozi, Sipiika Among agamba nti afunye amawulire ag’obulimba, agali mu kutambula ku mikutu migatta abantu, nti yalumbye Minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, nti yalemeddwa okukola emirimu gye nga y’emu ku nsonga lwaki abasuubuzi bali mu kwekalakaasa olw’emisolo egisukkiridde n’enkola ya EFRIS.

Wabula mu Palamenti, Sipiika Among alagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC), okunoonya abantu bonna abali mu mitimbagano, abamwogerako nga batambuza obulimba ssaako n’abo, abayinza okubanga babateekamu ensimbi.

Sipiika Among agumizza Palamenti nti abantu bonna, abagezaako okumusiiga enziro, ye ssaawa bategeera omuntu gwebalumba era bonna, balina okunoonyezebwa kuba bayinza okuba tebamutegeera bulungi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5LLRyANoIqk