Ab’ekitongole ky’ebigezo ki Uganda National Examinations Board, UNEB, kirabudde okujja layisinsi ku masomero gonna agali mu kulinyisa ensimbi, eri abayizi abagenda okwewandiisa okukola ebigezo by’akamalirizo oba Registration fees mu P7, S4 NE S6.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, amasomero okubinika ssente ezawukana n’ezo ezigerekeddwa ekitongole ky’ebigezo kimenya mateeka.

Dan Odongo

Ne ku mulundi guno, okwewandiisa aba

P7  – 34,000

S4  – 16,4000
S6   – 186,000

Okwewandiisa kukyagenda mu maaso okutuusa wiiki ejja ku Lwokutaano nga 31, May, 2024 kyokka singa omuyizi yenna asubwa okwewandiisa, UNEB yakusaawo omutango eri abayizi abo.

Dan Odongo era agamba nti ku mulundi guno, ebigezo ebigenda okolebwa bya mirundi 4 nga aba S4, bya mirundi 2 omuli abayizi, abagenda okutuula ebigezo ebya kaliculamu empya ssaako n’okuwa abayizi omukisa ogusembayo, okutuula ebigezo bya kaliculamu enkadde omuli abaagwa ebigezo ssaako n’abalemwa okutuula olw’ensonga ez’enjawulo okuva 2023 okudda emabega.

Ensonga endala ku nsonga y’ebigezo

– Abayizi nga bakulu emyaka 20 n’okudda waggulu, basobola okuddamu okwewandiisa mu Kaliculamu enkadde.

– Abayizi abatuula mu mwaka 2022, ku mulundi guno Gavumenti egenda kubasasulira ebisale by’okutuula ebigezo mu Kaliculamu enkadde

– Ebigezo bya ‘Continuous assessment’ okuva masomero, bitwala makisi 20 kyokka omuyizi bw’aba tabirina, tasobola kuyita bigezo era UNEB, tesobola kumuwa bbaluwa yonna.

– Okuva nga 4, June, 20244, October, 2024, amasomero gonna galina okuba nga gasobodde okusindika makisi z’abaana.

– UNEB erabudde nti singa omusomesa yenna oba essomero, lisaba ssente endala mu linnya lya UNEB, ayolekedde okuwa engasi ya Bukadde 40 oba okusibwa emyaka 10 oba byombi ssaako n’okuddiza abazadde ssente zaabwe.

Mungeri y’emu omusomesa yenna ayinza okugibwako layisinsi oba essomero okuligyako Centre Number.

– Ku mulundi guno, singa omusomesa yenna atwala ssente z’abayizi kyokka nalemwa okubawandiisa, bagenda kwatibwa era basobola okuwa engasi obukadde 40, oba okusibwa emyaka 10 oba byombi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xcFU8b8tpEc