Abantu 10 battiddwa ate abasukka mu 160 bawambiddwa mu ggwanga lya Nigeria, ekikolwa ekirese bangi ku batuuze nga bali maziga olwa Bamukwatammundu okulumba ekyalo.

Bamukwatammundu nga bali ku Pikipiki nga kigambibwa batujju bakabinja ka Boko Haram, balumbye ekyalo Kuchi mu kiro ne batta n’okutwala abatuuze.

Okusinzira ku Aminu Abdulhamid Najume, omu ku bakulembeze ku kyalo, bangi ku batwaliddwa bakyala n’abaana ate abattiddwa, bangi bavubuka abaali batendekebwa okukuuma ekyalo.

Kigambibwa abatujju bazze nga bali ku Pikipiki ne bafumba emmere, caayi, okubba ebintu by’abatuuze, oluvanyuma ne batwala abatuuze.

Mu kiseera kino abatuuze bali mu kutya nti essaawa yonna abatujju bayinza okudda, okuddamu okutwala n’okutta abatuuze.

Okuva 2021, ekyalo Kuchi kirumbiddwa emirundi egy’enjawulo era abatuuze bangi battiddwa, okusobya ku bakyala n’abaana.

Emirundi mingi, abatujju bazze basaba ssente eziri mu bukadde bwa ssente, okusobola okuyimbula abawambe.

Mu kiseera kino ebitongole byokwerinda, byongedde okunyweza ebyokwerinda okunoonya abatujju n’okununula abantu abatwaliddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e4rC_QWVhjI