Poliisi y’e Buyende etandiise okunoonya ababbi abalumbye omutuuze ne bamubba ssente 1.5M.
Eyabiddwa James Mubiru myaka 57, mutuuze ku kyalo Bulindamwiga mu ggoombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende.
Okunoonyereza kulaga nti ku Lwomukaaga nga 25, May, 2024 ku ssaawa nga 8 ez’ekiro, Mubiru yalumbiddwa ekiro nga yeebase ne bamukuba ssaako n’okumutema.
Mubiru yalumbiddwa nga yakamala okutunda ente era kigambibwa ababbi baafunye amawulire nti alina ssente kuba yabadde amaze okutunda ente.
Oluvanyuma lw’okutwala omusango ku Poliisi y’e Kidera CRB 059/2024, Poliisi yavuddeyo okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Poliisi yasobodde okweyambisa embwa ezikonga olusu era yasobodde okutambula okutuuka mu maka ga Musoke Ivan amanyikiddwa nga Abudu, muganda wa Mubiru eyalumbiddwa.
Mu kiseera nga Poliisi eri mu kwekebejja ekifo, Mubiru yabadde atwaliddwa mu ddwaaliro lya Kidera Health Centre IV.
Wadde Musoke yabadde mu ddwaaliro ne Mubiru, yasobodde okudduka oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Poliisi etuuse mu makaage nga mu kiseera kino aliira ku nsiko.
ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga North, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ababbi abaakoze ekikolwa ekyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e4rC_QWVhjI