Poliisi y’e Greater Bushenyi n’ekitebe kya Poliisi e Sheema balina omusango gwe bali mu kunoonyerezaako ogwa Muhumuza Nicholas myaka 32.

Muhumuza musajja munnadiini era mutuuze ku kyalo Kitoyo e Mitooma.

Nga bali mu loogi

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, nga 13, May, 2024 ku ssaawa nga 7 ez’emisana, Muhumuza yasanga omuwala S5 ng’avudde ku ssomero nga yali addayo awaka.

Muhumuza yali Pikipiki era yasalawo okutwalako omuwala awaka.

Wabula mu kiseera nga bali mu kkubo, alina ebigambo bye yawa omuwala ku nsonga z’omukwano era kwe kumutwala mu kifo ekimu okunywa ku soda.

Wadde omuwala yali mu Yunifoomu, Muhumuza yamutwala mu loogi okusinda omukwano era yasobola okweyambisa omukisa ogwo, okukwata obutambi obuli mu kutambula ku mikutu migatta bantu.

Enanga,  agamba nti Poliisi yafuna essimu okuva mu batuuze nti Muhumuza ali mu loogi n’omwana w’essomero era amangu ddala Muhumuza yakwatibwa.

Muhumuza n’omuwala baneyiba era bamanyikiddwa nnyo ku kyalo.

Enanga agamba nti Muhumuza yayimbuddwa kakalu ka Poliisi kuba omuwala alaga nti muwala mukulu wakati w’emyaka 18 – 19.

Enanga agamba nti Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku nsonga ezo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yKxIY-_ZHFw