Waliwo omukyala asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’okwenyigira mirimu mu ngeri emenya amateeka.

Omukyala Sabuka Mukisa  nga yepaatikako elya Hilda Powerz  nga mutuuze wa Bukejje Zone  e Makindye, bw’asimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road, aguddwako emisango gy’okukusa abantu, nabatwala mu ggwanga lya Thailand.

Okunoonyereza, kulaga nti yabatwala okwenyigira mu Busineesi y’okumutimbagano, ey’okuwola abantu wabula nga kimenya amateeka.

Emisango yagizza wakati wa July ne Desemba, 2023 mu Kampala nga yatwala abantu 15 e Thailand okubayingiza mu by’obusuubuzi mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti ku Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi, Hilda Powerz yegaanye emisango gyonna era bwatyo asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 24, June, 2024.

Mungeri y’emu oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze basobodde okutegeeza omulamuzi nti bakyanoonyereza.

Hilda Power wadde ali Luzira, yakwatibwa nga kivudde ku benganda z’abantu abatwalibwa, okumala akaseera nga tebawuliza bantu baabwe, kwe kuddukira ku Poliisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yKxIY-_ZHFw