Poliisi etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko omwana omuto, okwetta ku myaka 19.

Omwana Hawa Nantongo abadde mu S.5 ku Wampeewo Ntake Senior Secondary School mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigambibwa yesse nga kivudde ku nnyina, okumukaka okukola Sciences, Biology, Chemistry ne Mathematics (BCM) ate nga ye, yabadde yagala kukola Mathematics, Economics ne Geography (MEG)

Kigambibwa nnyina yabadde amusuubiza nti singa agaana okusoma BCM, ebya School Fees abyerabire.

Omu ku bayizi agaanye okwatuukiriza amannya ge, agamba nti Nantongo abadde alina ebirowoozo bingi olwa nnyina, okumulaga omusajja omulala nti kitaawe.

Ebirowoozo ebisukkiridde, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yesse, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, bwe yasobodde okulabiriza asikaali nafuluma essomero, okutuuka okwettira ku luguudo lwe Kyanja.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Wabula aba famire y’omugenzi nga bakulembeddwamu Peter Kisitu, basabye Poliisi okunoonyereza nnyo ku ngeri omwana gye yavudde ku ssomero mu kisulo, okutuuka okwetira ebweru w’essomero.

Aba famire era bagamba nti, ebiriwo biraga nti omwana wabwe, yattiddwa buttibwa nga betaaga okutegeera lwaki Nantongo yattiddwa.

Nantongo yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande wabula aba famire balaga nti Poliisi erina n’okunoonyereza ku nneyisa y’essomero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jFdGFfo5qcM&t=138s