Eyabba omulamuzi Kamasanyu akiguddeko

Kkooti enkulu mu Kampala, eriko omusajja gw’esindise mu kkomera, okumala emyaka 15 olwa misango gya bubbi.

Bilal Mulunzi myaka 30 asingisiddwa emisango gy’okubba omulamuzi Gladys Kamasanyu, ensawo omwali ssente 1,850,000, kaadi ya yinsuwa ey’ebyobulamu, essimu ekika kya Iphone nga yali ya bukadde 4, ebizigo ssaako n’ebiwandiiko ebirala.

Mu kkooti, Mulunzi akkiriza emisango, egy’okubba omulamuzi n’eryanyi.

Omusango yaguzza ne banne 5 nga 17, July, 2021, bwe yalumba omulamuzi Kamasanyu, bwe yali ayingira ggeeti y’essomero lya Green Hill Academy e Kibuli, gye yali agenze okukima alipoota y’omwana we.

Ku limanda e Luzira, Mulunzi abadde amazeeyo emyaka 2 era bwatyo asibiddwa emyaka 12 n’emyezi 2 n’ennaku 7.

Okusinzira katambi akaali katambula ku mikutu migata abantu, mu kusika ensawo, Kamasanyu yagwa wansi ne bagitwala wabula ne bamuddusa mu ddwaaliro ng’afunye ebisago ebyamaanyi.

Banne 5 begaanye emisango era bagamba nti betegefu okwewozaako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jFdGFfo5qcM&t=138s