Poliisi y’e Ayivu ne Arua City, eyongedde okunoonyereza ku ngeri omulenzi omuto gye yatiddwamu.
Omwana Waiswa Richard myaka 16, abadde omuyizi ku Kova Primary School era abadde mutuuze wa Nyai Cell mu kibuga Arua.
Okunoonyereza kulaga nti Waiswa abadde aganza mwana munne okuva ku ssomero lya Kova Primary School nga bonna besobyako.
Waiswa yagenze okukyalira ku mwana munne, ekyembi yakwatiddwa bazadde b’omwana kyoka abazadde ne babasanga mu kikolwa.
Waiswa, yafumitiddwa ebiso n’okumwokya era amangu ddala ng’amaze okufa, yatwaliddwa nasuulibwa mu mugga gwa Oziava.
Omulambo gwalabiddwa abatuuze ne batemya ku Poliisi kyokka mu kiseera kino abazadde bonna abenyigidde mu kutta omulenzi Waiswa baliira ku nsiko.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti abazadde baguddwako emisango gy’okutta omuntu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=twNJ5ePBPGg&t=383s