Amyuka Direkita mu kibuga Kampala David Luyimbazi, agamba nti betaaga emyaka 32 okulongoosa enguudo zonna ez’omu Kampala olw’ensimbi entono ezibaweebwa okukola enguudo.
Luyimbazi agamba nti singa bajeti yaabwe ku byenguudo esigala nga bweri, kigenda kuba kizibu okulwanyisa ebinnya mu Kampala.
Luyimbazi agamba nti emyaka egiyise babadde bafuna wakati w’obuwumbi 60 ku 70 okukola oba okudaabiriza enguudo nga zino zisobola kukola kiromita 10 zokka buli mwaka.

Bwe yabadde mu Palamenti mu kakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ka COSASE, Luyimbazi yalabudde nti kizibu nnyo okukola enguudo zonna mu Kampala bwe kiba nga ssente eziweebwa ekitongole ki KCCA zikyali ntono nnyo.
Wabula ababaka okuli Muhammad Nsereko owa Kampala Central, Nathan Itungo omubaka wa Kashari South, Allan Mayanja amyuka ssentebe wa COSASE bagamba nti kati kye kiseera bajeti y’enguudo za Kampala erinyisibwe kubanga omusolo mungi oguva mu Kampala nga kiswaza enguudo okusigala nga mulimu ebinnya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=twNJ5ePBPGg&t=384s