Poliisi y’e Busia ekutte omukyala omufumbo ku misango gy’okusobya ku mwana omulenzi omuto owa P7.
Omukyala Caroline Muzaki myaka 34 amanyikiddwa nga Namugisu nga mutuuze ku kyalo Bubolwa B mu ggoombolola y’e Bulumbi mu disitulikiti y’e Busia yakwatiddwa.
Kigambibwa bba Egesa Kulambano myaka 28 yaddukidde ku Poliisi olwa bba, okuddukira ku Poliisi okutaasa omwana okusobezebwako.

Caroline Muzaki mu kkooti

Ku Poliisi, omusajja Egesa agamba nti mukyala we abadde asobya ku mwana okuva mu August, 2023 era abadde amulabudde emirundi mingi.
Omusajja Egesa agamba nti yatambuddemu kyokka okudda awaka ekiro, yasobodde okusanga omwana ng’ali mu buliri bwe.
Ng’omusajja omulala yenna, Egesa yasobodde okutwala omwana ku Poliisi e Bulambi ku misango gy’okusalimbira mu makaage.
Moses Mugwe, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bukedi agamba nti oluvanyuma lw’okuzuula nti omwana mulenzi muto ng’abadde asobezebwako, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yakutte omukyala Muzaki.
Mugwe agamba nti Poliisi yakkiriza omwana okudda awaka ne basalawo okutwala omukyala mu kkooti.
Mu maaso g’omulamuzi Thomas Okoth owa kkooti esookerwako e Busia, omukyala Muzaki yaguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 17 wakati wa August, 2023 – February, 24, 2024.
Mu kkooti, omufumbo Muzaki yasindikiddwa ku limanda okutuusa nga 27, June, 2024

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=oRKEBpks5SQ