Poliisi y’e Wandegeya ekoze ekikwekweto mwekwatidde abantu abaludde nga benyigira mu kubba amafuta mu mmotoka z’abantu nga bagenze okuzooza.

Ekikolwa kino, baludde nga bakikola ku ‘washing bay’ okumpi n’eggwanika lye ddwaaliro e  Mulago mu Busia zzooni, Wandegeya mu Divizoni y’e Kawempe.

Ekikwekweto kikoleddwa nga kivudde katambi okutambula ennyo ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp nga baliko emmotoka gye bali mu kubbamu amafuta.

Omusajja ali mu katambi Mutebi Peter myaka 30 akwatiddwa.

Mutebi Peter

Kigambibwa talina mulimu nga mutuuze mu Quorta Zzooni, Kyebando mu Kawempe, Kampala.

Abalala ababbi abaliira ku nsiko kuliko

1. Asiku

2. Lubwama

3. Mawanda John

4. Emma

5. Kalema

Okunoonyereza kulaga nti olunnaku babadde benyigira mu kubba amafuta mu mmotoka eziri mu 20.

Buli lita y’amafuta ga Petulo ebadde etundibwa 2,500 ate aga diesel nga gatwalibwa mu bitundu bye Bwaise.

Mutebi aguddwako omusango gw’okubba amatufa mu mmotoka era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Poliisi era egamba nti waliwo ba ddereeva abekobaana n’ababbi, okubba amafuta mu mmotoka za bakama baabwe, nga bonna banoonyezebwa.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ebikwekweto, bikyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BO5UidKFwPE&t=2s