Poliisi y’e Busoga North n’ekitebe kya Poliisi e Kamuli ekutte asikaali Kizito Imulani myaka 40 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 8 n’okutigaatiga abaana abato okuli myaka 8 ne 10.
Kigambibwa yatandika mu May, 2024, okusobya ku baana n’okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.
Imulani abadde asikaali ku Master Children Ministries and Orphanage e Kamuli, ekitongole ekirabirira abaana bamulekwa era abadde yaweebwa omuli mu 2023.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi esobodde okutwala abaana mu ddwaaliro, okufuna alipoota y’abasawo era kizuuliddwa nti ddala kituufu omwana omu (1) myaka 8, abadde akozesebwa.

Fred Enanga

Poliisi egamba nti omu ku baana, yasobodde okutegeeza ku metulooni era amangu ddala Poliisi yayitiddwa, okunoonyereza ku nsonga ezo.
Enanga agamba nti Imulani aguddwako emisango gy’okusobya ku baana abato era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Ng’omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Enanga alabudde abazadde okwekeneenya abantu abaweebwa emirimu egiri okumpi n’abaana abato kuba kigenda kuyambako mu kutangira ebikolwa eby’okubasobyako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jo0iXzZZx3A