Abamu ku batuuze b’e Nabweru e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, tebalinze kitongole ki NEMA, ekivunaanyizibwa ku butonde, kwonoona bintu byabwe, singa balinda okumenyebwa.

Aba NEMA, bali ku ddimu ly’okumenya abantu bonna, abali mu ntobazi era abatuuze mu Lubigi, Nansana, Gganda, bangi bali maziga olw’okumenya amayumba gabwe.

NEMA okweyambisa eryanyi omuli n’okweyambisa Tulakita okumenya amayumba, y’emu ku nsonga lwaki ab’e Nabweru, bali kumenya mayumba gabwe.

Bano bagamba nti okumenya amayumba gabwe kikoleddwa, okusigaza bulooka, amabaati, enzigi, bbuliti, eziyinza okubayamba okuddamu okuzimba.

Wadde abamu basobeddwa eky’okuzaako, bagamba nti NEMA okwonoona ebintu byabwe, y’emu ku nsonga lwaki bakyekoleddeko.

Abakoseddwa, mwe muli

– Abalina amaka gaabwe, Enju ezipangisibwa

– Amassomero

– Abaludde nga bakola emirimu egy’enjawulo omuli loogi, okufumba emmere, abasiika Chapati n’abalala.

Mu kiseera kino, abatuuze abamu basula wansi wa miti mu ttenti, wakati mu kunoonya ssente okuddamu okunoonya enju ezipangisibwa, okufuna webayinza okudda. Abalina abaana, eky’okusoma babiyimirizza olw’embeera embi gye balimu nga n’akasomero akabadde okumpi, kamenyeddwa mu kiseera ng’abazadde bakamala okuzaayo abaana ku massomero nga ne ssente za ttaamu eno ziwereddwaayo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bWh_lM-Fa-4