Ebya Milk Bae tebinaggwa, omusajja akwatiddwa!

Poliisi mu Kampala ekutte omuvubuka Denis Nsubuga ku misango gy’okutambuza obuseegu.

Okuva wiiki ewedde, waliwo akatambi akabadde kali mu kutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala WhatsApp nga kalaga omukyala alaga nti yabadde asindikidde muganzi we akatambi k’obuseegu.

Milk Bae

Mu katambi, omukyala yakoze ebintu eby’enjawulo omuli n’okulaga ebitundu by’ekyama byonna mu ngeri y’okusabbalaza omusajja.

Akatambi okutambula ku mikutu egy’enjawulo, abasajja bangi basabbaladde.

Mu kusooka, abaali batambuza akatambi baali balaga nti ka Doreen Nalunga amanyikiddwa nga Milk Bae ku Tik Tok.

Wabula Poliisi egamba nti yafunye okwemulugunya okuva mu famire ya Milk Bae, okulaga nti kiswaza abantu okutambuza akatambi nga balaga nti ka Milk Bae ekintu ekikyamu era ekiswaza ekitiibwa kya muwala waabwe.

Denis Nsubuga

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Nsubuga akwatiddwa ku by’okufulumya akatambi.

Onyango agamba nti Nsubuga alina okutegeeza Poliisi lwaki yafulumiza akatambi era lwaki yasobodde okutegeeza eggwanga nti ali mu katambi, ayitibwa Milk Bae.

Mu kiseera kino omukyala ali mu katambi tamanyikiddwa wabula Nsubuga akuumibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS)

Ku Poliisi, Nsubuga aguddwako emisango gy’okukozesa obubi emitimbagano ssaako n’okusasaanya obuseegu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bWh_lM-Fa-4