Eyali RCC wa Lubaga Anderson Burora Hebert myaka 37 asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 9, June, 2024 oluvanyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi.
Aguddwako emisango 2 okuli
– Okwogera ebigambo ebisiiga obukyayi mu ggwanga
– Okusiiga enziro nga yeeyambisa Kompyuta wabula emisango gyona agyegaanye.
Oludda oluwaabi luleesa abantu 3 okuli Richard Birivumbika, Joan Keko ne Ivan Kyazze era basobodde okutegeeza omulamuzi nti bakyanoonyereza.
Ate Burora ayimbudde bannamateeka 12 nga bakulembeddwamu 12 David Kamukama ne Katana Benjamin.
Mu kkooti, bannamateeka ba Burora bawakanyiza emisango egiguddwa ku muntu waabwe nga baagala oludda oluwaabi, okulaga
– Ebigambo Burora bye yayogera, yabyogera ddi era byakosa bitya sipiika wa Palamenti Anita Among nga bwe kiba kigaanye, omuntu waabwe ayimbulwe.
Birivumbika asabye akadde okwekeneenya ebisabiddwa oludda oluwawabirwa, kwe kusaba okutuusa ku Lwokubiri nga 9, June, 2024, era bwatyo Burora kwe kusindikibwa ku limanda.
Kigambibwa Burora wakati wa March ne June, 2024 mu bitundu bya Kampala, ng’ayita ku mukutu gwa X, yawandiika ebigambo ebivvoola n’okusiiga obukyayi sipiika wa Palamenti Annet Anita Among.
Avunaaniddwa mu teeka erifuga enkozesa ya computer erya Computer Misuse Act 2022.
Munnamateeka Kamukama agamba nti balina essuubi nti Burora talina musango.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jo0iXzZZx3A