Omukyala Fatuma Nansubuga myaka 34 asindikiddwa mu kkomera okutuusa wiiki ejja lwa sipiika Anita Among.

Nansubuga, mutuuze we Karerwe Market, Kawempe, asindikiddwa e Luzira lwa kwefuula ekitagasa mu bantu.

Yakwatiddwa ku Lwokubiri nga 2, July, 2024 wali ku palamenti era enkya ya leero, asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Caroline Kyoshabire ku Buganda Road.

Mu kwekalakaasa yali asaba sipiika wa Palamenti Anita Among mu bwangu ddala okulekulira.

Nansubuga agamba nti sipiika Among asukkiridde okwenyigira mu kulya enguzi n’okuwagira abantu abalya enguzi, nga tagwanidde kusigala mu ntebe.

Yabadde akutte ekiwandiiko, okuwa kiraaka wa Palamenti n’omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi ng’asaba baleete ekiteeso, sipiika Among okugibwamu obwesige.

Okunoonyereza kuwedde era oludda oluwaabi lusabye kkooti okusaawo olunnaku okuwulira omusango.

Wabula mu maaso g’omulamuzi Kyoshabir, Nansubuga yegaanye emisango.

Wadde munnamateeka wa Nansubuga, Swaibu Kitakule abadde asabidde Nansubuga okweyimirira, omulamuzi amusabye alinde olutuula oluddako.

Asindikiddwa e Luzira okutuusa nga 9, July, 2024.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eMtbF8tQkLk