Poliisi y’e Kyankwanzi esobodde okwata abantu 5, abagambibwa okwenyigira Ente mu kitundu ekyo.

Mu kikwekweeto, Poliisi esobodde okuzuula emmotoka ekika kya Toyota Prado, egambibwa okweyambisibwa, mu kutambuza ensolo ezibiddwa.

Abakwatiddwa kuliko

1. Kagulire Farouk,

2. Sebungye Ronald

3. Kenge Fred,

4. Oneno Segawa Vincent ne,

5. Kalyango alias younger

Mu sitetimenti ku Poliisi,

Kagulire, abadde yakava mu kkomera, gy’amaze ebbanga lya myaka 3

Kalyango, yagaana okudda mu kkooti e Kiboga, ku misango gy’okubba ente.

Okusinzira ku Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, abakwate basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo, ebigenda okweyambisibwa mu kkooti.

Agamba nti emmotoka, ebadde yakyusibwa, okusobola okutambuza ensolo ezibiddwa e Kyankwanzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=C1dED6sANX8