Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu Kampala, nga Poliisi n’amaggye, bagezaako okutangira abantu okwekalakaasa.
Abavubuka bagamba nti bakooye ejjoogo, balina okugenda ku Palamenti okusaba sipiika wa Palamenti Anita Among okulekulira.
Bagamba nti Sipiika Among asukkiridde okwenyigira mu kulya enguzi nga y’emu ku nsonga lwaki alina okulekulira.


Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye beyongedde obungi mu Kampala okunyweza ebyokwerinda, okutangira embeera okusajjuka.


Ku nguudo zonna eziyingira Kampala, kuliko Poliisi n’amaggye n’okusingira ddala ku nguudo ezigenda mu Kampala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Uzu2jGTIrTA