Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ategeezezza ng’okwekalakasa okubaddewo wiiki ewedde bwekugendereddwamu okusiiga palamenti enziro olw’okuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga mu ggwanga.

Among agamba nti abantu balemeddeko mu kwekalakaasa nti alina okulekulira wabula agamba nti tagenda kulekulira kuba alekulire agende wa?

Mungeri y’emu agamba nti singa addamu okuwangula eky’omubaka wa Palamenti mu kulonda kwa 2026, alina okuddamu okwesimbawo ku bwa Sipiika bwa Palamenti ekisanja eky’okubiri (2).

Nga sipiika wa Palamenti, alabudde bannayuganda okukomya okweyambisa ebigambo n’ebikolwa ebisiinga Palamenti enziro.

Eddoboozi lya Sipiika

Among okwogera bino abadde ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’ebirungi byakoledde ab’enyumba ya Daudi Bangirana, omumyuka we Thomas Tayebwa mwava.

Omukolo guno era gwetabiddwako Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ng’ono akalaatidde abavunaanyizibwa ku byensimbi mu bitongole bya gavumenti okuba abasaale mu kulwanyisa enguzi.

Museveni agamba nti abakulembeze omuli abatesiteesi mu Minisitule ez’enjawulo, balina okwewala okukozesebwa kuba singa ssente zonna zibulankanyizibwa, tewali kubattira ku liiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hXQFdzUIKHM