Kkooti e Nakawa eyimbudde abantu 4 ku 5 abaali bakwatibwa mu by’okwekalakaasa wiiki ewedde.
Bano, bakwatibwa ku Lwokubiri nga 23, July, 2024 mu Kampala wali ku Oasis Mall Nakumatt
Enkya ya leero, abakkiriziddwa okweyimirirwa kuliko
Faiza Salima myaka 28
Dr. Thomas Kanzira myaka 28
Bernard Ewalu Olupot myaka 39
Hamala Edgar Barlow myaka 25
Ate Aljab Musinguzi myaka 40 omulamuzi agobye okusaba kwe olw’omu ku baleteddwa okumweyimiria obutamanya gy’abeera watuufu.
Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Ritah Kidasa Neumbe.
Bonna basabiddwa ssente emitwalo 20 ne mitwalo 50 ezitali za Buliwo eri abantu ababeyimiridde.
Omulamuzi era abagyeko omusango gw’obwakirereesi ne basigaza ogwa okwefuula ekitagasa.
Omulamuzi okusalawo kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Doreen Elima okusaba bakola enongoosereza mu mpaaba.
Balagiddwa okudda mu kkooti nga 14, August, 2024.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gESLRgNXl6w