Omuwala Harriet Ampaire myaka 23 eyasalako bba ebitundu by’ekyama aguddwako emisango gy’obutemu bw’asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Kasaali mu disitulikiti y’e Kyotera.
Ampaire, nga mutuuze mu zzooni y’e Kabaawo e Kyotera, asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Ignatius Ategeka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maureen Namusisi, nga 21, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, 2024, ku kyalo Kabaawo, Ampaire yasalako muganzi we Reagan Karamagi obusajja, ekyavaako, okufa kwe.
Ampaire, bamukwatidde Mutukulu bwe yabadde ali mu ntekateeka okuyingira eggwanga lya Tanzania.
Namusisi asobodde okutegeeza omulamuzi nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Mu kkooti, Omulamuzi Ategeka amugaanye okubaako kyayogera kuba emisango gy’obutemu gya naggomola era bwatyo asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kasaali mu disitulikiti y’e Kyotera okutuusa nga 14, omwezi Ogwomunaana, 2024.
Wabula mikwano gy’omugenzi balemeddeko okunoonya obwenkanya.
Omugenzi Karamagi yali avuga byamaguzi okuva ku nsalo e Mutukula.
Robert Karamagi, muganda w’omugenzi agamba nti betaaga bwenkanya n’okuzuula lwaki omuntu waabwe yattibwa mu ngeri bwetyo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=80Ag8UHomho&t=14s