Poliisi evuddeyo katambi akali mu kutambula, akalaga RTD Bishop Zack David Niringiye ng’ali ku ttaka akubiddwa.

Poliisi egamba nti Bishop Niringiye yabiddwa ku mmande nga 29/ July/ 2024.

Embeera eno, yabadde ku Kimera Road, Village 12, e Ntinda mu Kampala

Eyabiddwa, emisana bwe yali akola dduyiro abasajja nga bali ku Pikipiki okumpi ne Rock View Hotel.

Yakubiddwa ekintu ku mutwe era olwagudde ku ttaka, essimu ye ekika kya Iphone 13, Pro Max ne bagitwala ssaako n’ebintu ebirala.

Bishop Zack wadde yafunye obujanjabi, Poliisi eremeddeko okunoonya abenyigidde mu kikolwa ekyo.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti sitetimenti zikoleddwa era okunoonya ababbi, abatambulira ku Pikipiki, kutandikiddewo.

vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=m6A4HAZQeEA