Abatuuze b’omu Lusanja – Kiteezi basabye abakulembeze baabwe okunoonyereza ennyo okutuusa nga bavudde ekyavudde kasasiro okubumbulukuka kuba balina bwiino.
Ku Lwomukaaga, abatuuze bakeeredde mu maziga era n’okutuusa kati, Poliisi, amaggye n’abatuuze bali mu kunoonya mirambo.
Wabula omubaka w’ekitundu ekyo, Kyadondo East Muwada Nkunyingi bw’abadde alambula ku batuuze, ate afunye amawulire eg’enjawulo ku kiyinza okuba nga kyavuddeko embeera yonna.
Abatuuze bagamba nti waliwo aba China abaludde nga bali waggulu kasasiro nga bateekamu Payipu nga bagamba nti bagenda kukola ggaasi.
Abatuuze basabye omubaka waabwe Nkunyingi okunoonyereza ennyo kuba bagamba nti waliwo ekintu ekyabwatuse omulundi gumu ne kivaamu omukka era amangu ddala kasasiro yakubye abantu.
Ng’abatuuze balemeddeko, nti embeera yonna okusajjuka, kyavudde ku payipu za ggaasi ezateekeddwamu aba China.
Omubaka Nkunyingi yawulidde ekipya era ng’omukulembeze, yasuubiza nga bw’agenda okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Okunoonya emirambo kuddamu enkya ya leero ku Lwokubiri nga 13, August, 2024 ng’olunnaku olw’eggulo, enkuba yabalemesezza
Ebirala ebifa e Kiteezi ku bwiino- https://www.youtube.com/watch?v=U8EGX9ebYuQ