Poliisi egumizza bannayuganda ku by’okwerinda, okwetangira embeera yonna eyinza okulumya bannansi.
Poliisi okuvaayo, kiddiridde gavumenti ya Amerika okulabula bannansi baayo abawangaalira kuno okuba abeegendereza oluvannyuma lw’okufuna oluvuvuumo nti wandibaawo obutujju mu bitundu bya Kampala ebirimu abantu abangi.
Kati no, Poliisi egamba nti okulabula kwa America kutuufu kuba wadde eby’okwerinda binywezeddwa, naye ate, n’abatujju bakola kyonna ekisoboka, okulaba nti balumba bannansi.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituuma agamba nti kati ye ssaawa buli muntu okwenyigiramu okunyweza ebyokwerinda.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke


Poliisi erabudde abali mu

  • Takisi
  • Akeedi z’ebizimbe ez’enjawulo
  • Abatekateeka ebivvulu
  • Ssaako n’okuba bulindaala nga bategeeza ku byokwerinda ku mbeera yonna.
    Kituuma ng’asinzira wali ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti bannayuganda bonna balina okuyambako mu kiseera kino eky’okulwanyisa obutujju.
    Agamba nti Uganda esobodde okulwanyisa obutujju ebbanga lyonna nga kivudde ku nkolagana ennungi wakati wa Poliisi n’abantu mu ggwanga lyonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=o_AvBXRN2Ss