Kyaddaki Poliisi mu bitundu bya Savannah ekutte omusawo w’ekinnansi ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, myaka 12.
Omusawo w’ekinnansi Sheikh Mohammed Uthuman, mutuuze mu zzooni ya Kizito, mu Tawuni Kanso y’e Luweero mu disitulikiti y’e Luweero, yakwatiddwa.
Mu sitetimenti ku Poliisi, omwana nga muyizi ku Esteem Nursery and Primary School ku kyalo Galuweero mu Tawuni Kanso y’e Luweero agamba nti Sheikh Uthuman, yamusiiga eddagala mu bitundu by’ekyama okumala ennaku 5 okuva nga 22, August, 2024 kyokka ku lunnaku Olwomukaaga, bwe yali afundikira ddoozi, bwatyo namusobyako nga yakamala okumusiiga eddagala.
Okunoonyereza kulaga nti jjajja w’omwana yatwala omwana eri Sheikh Mohammed Uthuman ng’alina obulwadde.
Omusawo w’ekinnansi, yasuubiza okuwa omwana eddagala okumala ennaku 5 kyokka jjajja w’omwana yali alina okusigala ebweru w’essabo mu kaseera ng’omwana afuna obujanjabi.
Kigambibwa, oluvanyuma lwa Sheikh Uthuman okusobya ku mwana, omwana yasobola okutegeeza ku jjajja kyokka jjajja teyafaayo ku nsonga z’omwana.
Olwa jjajja obutafaayo, omwana yasobodde okutegeeza ku mukulu w’essomero lya Esteem Nursery and Primary School era amangu ddala taata w’omwana yayitiddwa ku ssomero ne batwala omusango ku Poliisi.
Okusinzira ku Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Sheikh Mohammed Uthuman akwatiddwa era essaawa yonna bamutwala mu kkooti abitebye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nCfsIZmWMJs