Makerere Yunivasite erangiridde ennaku z’okutikkira abaana ku matikkira ag’emyaka 75.

Amatikkira galangiriddwa okuva nga 13 – 17, January, 2025.

Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde eri akulira eby’enjigiriza ku Yunivasite e Makerere Prof Buyinza Mukadasi, buli Kolegi esabiddwa okutimba enkalala z’abayizi abalina okutikkirwa.

Mungeri y’emu agambye nti ‘List’ abalina okutikkirwa zirina okutwalibwa mu offiisi ye obutasukka 4, October, 2024.

Prof Buyinza agamba nti abakungu ba Yunivasite balina okutuula nga 24, October, 2024, okakasa ‘List’ y’abayizi abalina okutikkirwa.

Mungeri y’emu agamba nti “List’ esooka ey’abayizi abalina okutikkirwa, erina okufuluma nga 29, November, okusobola okwetekateeka obulungi.

Agamba nti abaana abanasooka okuba ku ‘List’ enasooka okufuluma, balina okufuna Gawuni okuva nga 2-10, January, 2024.

Entekateeka ziraga nti n’omulundi guno, amatikkira gagenda kutwala ennaku 5.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eMvu37nVXFo