Omukyala omusomesa Sarah Nalubiri, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okubba omwana myaka 2 nga 8, omwezi guno ogwa September, 2024.
Nalubiri myaka 28 nga musomesa ku Nakivubo Blue Primary School mu Kampala, yabba omwana myaka 2 ku kkanisa Christian Life Focus mu Kisenyi mu Kampala.
Mu kutwala omwana, kkamera eziri ku nguudo zamulaba era buligyo abadde anoonyezebwa.
Wabula omwana yamukomezaawo, bwe yafunye amawulire nti omwana yenna amulonze oba amulabyeko, agenda kuweebwa ssente miriyoni 2 era yabadde akomezaawo omwana, asobole okufuna ku nsimbi ezo.
Mu kkooti ya LDC mu Kampala, maaso g’omulamuzi Martin Kirya, Nalubiri yaguddwako emisango gy’okubba omwana nga gyanagomola era bwatyo, asindikiddwa ku limanda okutuusa 7, October, 2024.
Mu kiseera kino, oludda oluwaabi, lukyanoonyereza okuzuula ensonga entuufu lwaki omusomesa omutendeke Nalubiri, yabadde yeenyigidde mu kubba omwana.