Omuwendo gw’abantu abakafa omuliro e Kigoogwa gweyongedde nga kivudde ku mbeera y’abalwadde embi.
Wiiki ewedde ku Lwokusatu, ekimotoka ky’amafuta kyagwa mu bitundu bye Kigoogwa, e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso era amangu ddala nekikwata omuliro.
Abantu 11 bafiirawo ate abasukka 20 ne batwalibwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi omuli eddwaaliro e Kiruddu.
Wabula okusinzira ku Dr Moses Byaruhanga, akulira eggwanika lya KCCA e Mulago agamba nti abantu abaakafa kati baweze 24 nga waliwo n’abo abakyali malwaliro.
Ku baakafa 24, kuliko 18 abasajja, 6 bakyala.
Dr. Byaruhanga agamba nti ku basajja 18, kuliko omwana omu (1) ate ku bakyala 6, kuliko abaana 2.
Aba famire, bakatwala emitwalo 11 nga kuliko abasajja 9 n’abakyala 2.
Gavumenti egamba nti buli famire eyafiiriddwako omuntu, agenda kuweebwa shs 5,000,000 ate buli ali mu ddwaaliro, shs 1,000,000.
Wabula abamu ku bafiiriddwako abantu baabwe bavudde mu mbeera ku ggwanika lye Mulago, bagamba nti mu ddwaaliro e Kiruddu, bagiddwako ssente okusobola okufuna obujanjabi, nga kizibu nnyo omuntu omwavu, okufuna obujanjabi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2SBknak3EwQ