Gavumenti mu ggwanga erya Equatorial Guinea egobye Baltasar Ebang Engonga abadde Direkita wa National Financial Investigation Agency (ANIF).
Engonga agobeddwa oluvanyuma lw’obutambi okufuluma ng’ali mu kaboozi n’abakazi ab’enjawulo.
Oluvanyuma lwa vidiyo okufuluma, mukyala wa Pulezidenti wa Equatorial Guinea, Mrs. Obiang, yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Facebook okusaba okuvaayo mu bwangu okutaasa ekitiibwa ky’abakyala n’eggwanga.

Baltasar Ebang Engonga


Offiisi ya Mrs. Obiang yasuubiza okuyingira mu nsonga ezo, okunoonyereza okutuusa nga abakyala bonna abali mu vidiyo, bafunye okwenkanya ssaako n’okunoonyereza lwaki omusajja yali akwata vidiyo z’abakyala eb’enjawilo.
Ate ssaabaminisita wa Equatorial Guinea, Osa Nsue agamba nti Gavumenti erina okukuuma abantu n’ekitiibwa ky’ensi, nga y’emu ku nsonga lwaki Engonga tagwanidde kusigala mu ntebe.
Ate amyuka Pulezidenti wa Equatorial Guinea, Teodoro Nguema Obiang Mangue asabye ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya okukola kyonna ekisoboka, okutangira vidiyo z’ebuseegu, okweyongera okutambula mu bantu.
Agamba vidiyo okweyongera okutambula, kiyinza okuvaako ate obuseegu okweyongera mu bantu.
Gavumenti era egamba nti omuntu yenna okutambuza vidiyo omuli WhatsApp kati musango

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6deCKAKoDxM&t=2s