Ebitongole byokwerinda mu ggwanga erya Kenya nga bikulembeddwamu Poliisi, batandiise okunoonya abatemu, abasse omubaka wa Palamenti Charles Ong’ondo.
Omubaka Ong’ondo, yakubiddwa amasasi mu kibuga Nairobi, abasajja abazze nga batambulira ku Pikipiki.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga erya Kenya, Muchiri Nyaga, okunoonyereza kulaga nti abatemu bazze nga balinya Omubaka Ong’ondo akagere okutuusa bwe yakubiddwa amasasi ng’ali ku bitaala.
Omubaka Ong’ondo ava ku ludda luvuganya era emyezi 2 egiyise, abadde yavaayo dda ku nsonga y’ebyokwerinda bye nti waliwo abantu abalemeddeko okwagala okumutta.
Oluvanyuma lw’okukubwa amasasi ku Lwokusatu, ddereeva we n’omukuumi we, basobodde okumuddusa mu ddwaaliro erya Nairobi Hospital ng’ali mu mbeera mbi kyokka yafiiridde mu kkubo.
Omubaka Ong’ondo yakubiddwa ku luguudo lwe Ngong ku bitaala.
Mu kiseera kino Pulezidenti William Ruto alagidde ebitongole byokwerinda byonna okunoonyereza okutuusa nga bakutte abatemu bonna bavunaanibwe – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1131s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.