Olunnaku olwaleero, tukuleetedde ebikwata ku mmotoka, eyasse Rajiv Ruparelia, abadde mutabani w’omugenzi Sudhir Ruparelia.
Rajiv Ruparelia yafudde mu kiro ku Lwomukaaga nga yabadde mu mmotoka ekika kya Nissan GTR namba UAT 638L.
Emmotoka eno, Nissan GT-R (Gran Turismo–Racing) Model R35, ekolebwa mu ggwanga erya Japan okuva mu Kampuni ya Nissan.
Emanyikiddwa ng’emmotoka evuga ez’empaka kuba erina Yingini yamaanyi nnyo ne Tekinologye omulungi nnyo kuba akyali mupya.
Nissan GTR yakolebwa nga mulimu entebe 2, enzigi 2 era ezimbiddwa okuva 2007 okutuusa 2025 era Yingini ya Tabbo 3.8L.
Emmotoka eno, erina amaanyi kuba esika emipiira gyona 4 (four wheel car).
Yakoleddwa okudda mu bigere bya Nissan Skyline GT-R.
Yakoleddwa, okulaba nti mu nsi yonna, ekwata kisooka mu mmotoka z’empaka.
Okutekateeka okuzimbibwa, kwatandiika mu 2,000 era basooka okugiraga bannamawulire mu mwoleso gwa Tokyo Motor Show mu 2007.
Omubiri gwayo, gwazimbibwa mu steel, aluminium ne carbon-fibre.
Kale kigambibwa omugenzi Rajiv yabadde adduka nnyo.
Olunnaku olwaleero, aziikiddwa mu kitiibwa era omulambo gwe gwokeddwa, okusobola okuteeka mu nkola obuwangwa bwabwe obwaba Hindu – https://www.youtube.com/watch?v=TCn8C-HsCDE&t=16660s