Bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) bonna, abakiika mu Palamenti y’eggwanga lino, bakaanyiza okuwagira enkyukakyuka zonna mu tteeka ly’amaggye, erigenda okuzaawo kkooti y’amaggye.
Olunnaku olwaleero, ebbago ly’amaggye erya ‘The Uganda Peoples’ Defence Forces 2025’ lisuubirwa okudda mu Palamenti, okulisoma omulundi ogwokubiri.
Wiiki ewedde, mu Palamenti eyali ekubirizibwa sipiika wa Palamenti Anita Among, ebbago lyasindikiddwa mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka nga kali wamu n’akakiiko k’ensonga z’ebyokwerinda ssaako n’ensonga z’omunda mu ggwanga, okulyekeneenya nga kigambibwa olunnaku olwaleero ku Lwokubiri, lisuubirwa okudda mu Palamenti.
Wabula aba NRM bagamba nti abantu babulijjo, bakkirizibwa okutwalibwa mu kkooti y’amaggye singa benyigira mu kuzza emisango egy’enkizo omuli ettemu nga beyambisa emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Nampala wa Gavumenti Denis Obua, agamba nti NRM egenda kulemberwamu Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka okubalambika ku nsonga z’amateeka.
Wabula ab’oludda oluvuganya nga bakulembeddwamu Joel Ssenyonyi, bagamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka, okulaba nga balemesa etteeka lya UPDF – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=20s