Eyali omujaasi w’Eggye lya UPDF oluvannyuma naddukamu, Daniel Kisekka Kiwanuka omutuuze mu disitulikiti y’e Kayunga, aweereddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35 oluvannyuma lw’okukkiriza nti yeyatta eyali amyuka Ssaabawaabi wa gavumenti, Joan Kagezi nga 30, March, 2015.

Mu kkooti enkulu mu Kampala ebadde ekubirizibwa abalamuzi 4 nga bakulembeddwamu omulamuzi Michael Elubu, agiddwako emisango gy’obutujju ne bamusiba ku misango gy’obutemu.

Okusinziira ku kkooti, Kisekka yabba emmundu 2 kika kya AK47 bwe yali adduka mu maggye zeyakozesaanga okubba okutuusa lwe yafuna ddiiru y’okutta Kagezi nga yali asuubiziddwa emitwalo 2 kyokka ne bamuwaako ssente emitwalo 50.

Joan Kagezi Namazzi

Yegatta kabinja akaali kakulemberwa John Kibuuka, okupanga n’okutta Kagezi

Kisekka yetondedde famire y’omugenzi, gavumenti ne Pulezidenti ng’ono amaze ku alimanda omwaka gumu n’emyezi 6 n’ennaku 13 nga lino ebbanga lyakutoolwa ku kibonerezo ekimuweereddwa.

Omuwaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko, agamba nti ettemu, lyongera okusanyalaza emirimu gy’oludda oluwaabi, eri abo, abali ku misango egya naggomola.

Emisango gy’okutta Kagezi, gikyagenda mu maaso eri 3 abakyasigaddeyo okuli John Kibuuka, Nasur Abduallah ne John Masajjagehttps://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=20s