Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Prossy Mukisa amanyikiddwa nga Nabbosa, ayimbuddwa bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Mugizi Obedi.
Nabbosa ng’ali ku misango gy’okweyisa ng’ekitagasa, kigambibwa yakozesa ebigambo ebisiiga obukyaayi wabula ayimbuddwa kakalu ka kkooti, ka mitwalo 20 ez’obuliwo n’obukadde 3 buli omu, ezitali za buliwo, eri abantu 2, abamweyimiridde era alagiddwa okudda mu kkooti nga 9, June, 2025.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ariyo precious, bagamba nti bakyanoonyereza.
Nabbosa, nga y’omu ku begwanyiza eky’omubaka omukyala e Mityana yakwatibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande okuva ku Emirates Hotel e Mityana gye yali agenze okwegata ku banne, bannakibiina, okubaako ensonga ze batesaako.
Wabula munnamateeka we, Emanuel Kiyingi agamba balina essuubi okuwangula omusango gwo mu kkooti – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=2s