Kyaddaki abantu 11 abaakwatibwa ku misango gy’obutujju n’okusangibwa n’ebintu ebibwatuka ebijingirire, basindikiddwa mu kkooti enkulu, okwewozaako.

Abakwate, bagamba nti bannakibiina ki NUP, kigambibwa nga 7, May, 2023 mu zzooni ya Nabweru North e Nansana, abakwate bano, bazza emisango egy’obutujju, webasangibwa nga baguze ebintu okugingirira bbomu.

Bonna, basindikiddwa omulamuzi wa kkooti esookerwako Nabweru Sarah Namusobya.

Enkya ya leero, batwaliddwa mu kasenge k’omulamuzi wakati mu byokwerinda, omutakkiriziddwa bannamawulire okugyako bannamateeka bokka n’abasirikale mu kitongole eky’amakkomera.

Oluvudde mu kasenge ng’abasibe basindikiddwa mu kkooti enkulu, munnamateeka Malende Shamim, ayogeddeko naffe era agamba nti abasibe tebali mu mbeera nnungi.

Agamba abasibe abamu balwadde nga y’emu ku nsonga lwaki, baddukidde mu kkooti enkulu, okusaba okweyimirirwa.

Ate aba famire, balemeddeko nti abantu baabwe, tebalina misango.

Abasindikiddwa mu kkooti enkulu kuliko Muhamud Kalyango okuva e Tula, Wilber Kairugala nga mutuuze we Kibwa ,Sulaiman Male (Kyewalabye) okuva e Lwadsa A mu Divizoni y’e Gombe mu Wakiso, Abdul Katumba nga musajja musuubuzi okuva e Nabweru North, Nansana, Abdallah Katumba okuva ku kyalo Growers Zone e Kawempe.

Abalala kuliko Resty Birungi Nabbosa, nga mutuuze we  Busakya e Matuga Gombe, Hamidu Muyobi, okuva ku  Jinja Karoli, Issa Makumbi, Umar Magala nga mutuuze mu Kakungulu Zzooni.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=2s