Akakiiko k’ebyokulonda kalemeseza bannakibiina kya NUP, okusunsulwa nga balina obukoofira ku mitwe.

Okusunsula abantu bonna abegwanyiza okukiika mu Palamenti y’eggwanga kutandiise enkya ya leero nga mu Kampala, entekateeka zigenda mu maaso ku offiisi z’akakiiko k’ebyokulonda e Ntinda.

Wabula eyegwanyiza eky’omubaka omukyala owa Kampala munna NUP Shamim Malende abadde agobeddwa, bw’aleese ekifaananyi ng’ali mu nkofiira ya NUP.

Malende alagiddwa, okuleeta ekifaananyi ekitaliko nkofiira, nga mu kulonda kwa 2021, obukofiira ku bantu bonna bannakibiina kya NUP tebukkirizibwa.

Amangu ddala, yekubisizza ekifaananyi nga tali mu nkofiira, ab’akakiiko k’ebyokulonda ne bakkiriza okumusunsulamu.

Eddoboozi lya Malende

Mu kulonda kwa 2021, Malende agenda kutunka n’abakyala ab’enjawulo ku ky’omubaka omukyala owa Kampala omuli munna kibiina kya NRM Faridah Nambi, munna FDC Stella Nyanzi ssaako n’abalala, abayinza okwewandiisa essaawa yonna.

Munna NRM Nambi agamba nti okulongoosa enguudo mu Kampala, okulwanyisa obukyafu zezimu ku nsonga lwaki avuddeyo okwesimbawo.

Ate Munna FDC Stella Nyanzi, agamba nti Kampala okufuuka ekibuga ekyesiimisa, yaggwanidde okulya eky’omubaka omukyala owa Kampala.