Poliisi y’e Nansana Gganda mu disitulikiti y’e Wakiso ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abavubuka 7, abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze, nga benyigira mu kubba nga beyambisa ejjambiya.
Abakwate kuliko

  • Umar Katamba 23
  • Sharif Lwanga 20
  • Sulaiman Ntege 30
  • Saimon Toko 18
  • Jesiper Kawalya 18
  • Bandra Kaweesa 16
  • Hashim Ssentongo myaka 14
    Mu kikwekweeto, basangiddwa n’enjaga era basobodde okulembera Poliisi, ebadde ekulembeddwamu akulira Poliisi y’e Nansana David Twinomujjuni, okubatwala gye bakweka ejjambiya.
    Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, ayogeddeko naffe era agamba nti balina essuubi nti wiiki eno, abakwate bonna bagenda kutwalibwa mu kkooti.
    Onyango agamba nti mu kiseera kino, bali kutekateeka fayiro zaabwe, okutwalibwa mu maaso g’omulamuzi kuba kuliko n’abaana abato abali wansi w’emyaka 18.
    Ku Poliisi, abamu ku babbi, bakkiriza okwenyigira mu kubba abatuuze nga beyambisa ejjambiya era basobodde okulonkoma banne, webaludde nga batema abantu.
    Bano, bagamba nti baludde nga benyigira mu kubba amassimu nga gatundibwa mu bitundu bye Kasubi era Poliisi byonna esuubiza okunoonyereza – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A