Ku kitebe kya National Unity Platform (NUP), essanyu libugaanya bannakibiina nga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ateekayo okusaba kwe, ekibiina okuddamu okumwesiga, okumuwa kaadi mu kulonda kwa 2026 ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga.

Kyagulanyi Ssentamu, awerekeddwako abantu ab’enjawulo okuli mukyala we Barbie Kyagulanyi, famire z’abo abakyanoonya abantu baabwe wamu ne famire z’abo, abalina abasibe makkomera nga Eddie Mutwe.

Bw’abadde asaba kaadi, Kyagulanyi agamba nti singa NUP emwesiga, teri kuzikiza okutuusa nga bakutte obuyinza okugenda Entebe mu ntebe.

Agamba nti mu kiseera nga bannakibiina bakyawambibwa, okusibwa ssaako n’okubalemesa okweyagalira mu ggwanga lyabwe, y’emu ku nsonga lwaki akomyewo, okuddamu okwesimbawo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.

Olunnaku olwaleero, NUP efundikidde okukwata empapula z’abo, abegwanyiza obwa Pulezidenti nga Robert Kyagulanyi Ssentamu yekka yasobodde okulaga obwagazi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=a5lT7H5bpuQ&t=6s