Dr Kizza Besigye ne banne, Hajji Obeid Lutale, ssaako munnamaggye Capt Dennis Oola, olunnaku olwaleero, basuubirwa wali mu kkooti esookerwako Nakawa.

Besigye ne banne, basindikibwa dda mu kkooti enkulu mu Kampala, okulinda okwewozaako ku misango gy’okulya mu nsi olukwe wabula waliwo ensonga ezitanaggwa wali mu kkooti e Nakawa.

Ezimu ku nsonga, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, baasaba dda kkooti okubakkiriza okwekebejja essimu za Besigye, okubayambako mu ngeri y’okungaanya obujjulizi.

Wabula munnamateeka wa Besigye omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, awakanya eky’okuzza Besigye mu kkooti e Nakawa, ate nga yasindikibwa dda mu kkooti enkulu mu Kampala.

Mungeri y’emu, yasaba omulamuzi wa kkooti e Nakawa, Christine Nantege ave misango gya Besigye, nga kirabika gimulemye.

Enkya ya leero, omulamuzi Nantege lwasuubirwa okuwa ensala ye, oba emisango agivaamu oba nedda – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=22s