Poliisi mu Kampala ewezeza omuwendo gw’abantu 30 abakakwatibwa, abagambibwa okwenyigira mu kubba n’okutimpula tteke n’ebikonde, ku Lwomukaaga nga bayambadde obusaati obwakyevu, obulaga nti bawagizi b’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM).

Bano, mu kusooka, balaze nti bali mu ssanyu olw’okusunsula, Yoweri Kaguta Museveni ku bwa ssentebe w’ekibiina ki NRM n’okufuna kaadi okuddamu okulembera ekibiina mu kulonda kwa 2026 ku bukulembeze bw’eggwanga.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, babbi abenyigidde mu kubba abantu ku National Theater, Bakondo era abakwate, abamu bali ku CPS ne Wandegeya.

Kituuma, agamba nti bonna abali mu kabanja ako, bagenda kunoonyereza okutuusa nga bakwatiddwa.
Ate akulira eby’amawulire mu NRM, Emmanuel Lumala Dombo agamba nti Poliisi erina okunoonyereza okukwata ababbi bonna kuba tewali wa NRM yenna ayinza kweyisa mu ngeri bwetyo – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=24s