Amasanyalaze gasse omukyala ne bba mu Kampala

Entiisa mu zzooni ya Nkere e Katwe, Makindye, erese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Omukyala Namuyomba Tina akadde okwoza engoye akubiddwa amasanyalaze bw’abadde ayanika engoye.

Enkembi ne bba Ssefuma Charles adduse okutaasa mukyala we, kyokka naye olukute ku mukyala we, naye ne gamukubirawo.

Namayomba addusiddwa mu ddwaaliro e Kiruddu wabula batuuse yafudde ate bba Ssefuma afiiridde mu kkubo nga bagezaako okumutwala mu ddwaaliro lya Lifeline clinic. 

Okunoonyereza kulaga nti akubiddwa amasanyalaze, agaludde nga gabibwa, agaakutte ku waya.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ayogeddeko naffe era agamba nti batandiise okunoonyereza – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=33s