Ebyokwerinda bikedde kunywezebwa ku kkooti enkulu e Masaka, olunnaku olwaleero, omulamuzi wa kkooti eyo, lw’agenda okutandiika okuwuliriza okusaba kwa bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), okulaba nti bafuna okweyimirirwa.
Abasibe kuliko
Eddy Sebuufu amanyikiddwa nga Eddi Mutwe
Achileo Kivumbi
Mugumya Gaddafi
Grace Wakabi nga bonna bakanyama ba Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Abakwate bali ku misango omuli
– Okubba ssente emitwalo 20
– Okubba esweta ya munnamawulire Margret Kayondo
– Okubba amassimu ebalibwamu 730,000
– Okutuusa obulabe ku bantu okuli bannamawulire Zainab Namusaazi ne boonona kkamera ye ebalibwamu (1.5M), ssaako n’okubatisatiisa.
Bino byona, byaliwo mu disitulikiti y’e Lwengo, 8, May, 2024 ku kyalo Manja mu ggoombolola y’e Kisekka.
NUP eyungudde bannamateeka ab’enjawulo, okulaba nti bayimbula bantu baabwe era munnamateeka Herbert Zikusooka, agamba nti buli kimu ekyetaagisa kikoleddwa, okutaasa abantu baabwe abali mu kkomera – https://www.youtube.com/watch?v=ewB5PledrA0&t=10s