Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa munnakibiina ki NUP Yasiin Ssekitoleko amanyikiddwa nga Machete.

Bannamateeka ba Machete, nga bakulembeddwamu Samuel Muyizzi baddukira mu kkooti enkulu nga  omuntu waabwe ayimbulwe, bw’aba alina emisango, awoze ng’ava bweru.

Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu Prof Andrew Khaukha, agambye nti tayinza kuwulira kusaba kuno okutuusa nga bazeemu ne baloopa emisango egyo nga bayise mu kkooti z’abulijjo.

Omulamuzi agamba nti Machete, yasindikibwa ku limanda kkooti y’amaggye, nga bannamateeka be, balina okusooka, okuzza emisango gye mu kkooti z’abulijjo.

Wadde Machete agenda mu myaka 4 ng’ali ku limanda, omulamuzi awadde bannamateeka be amagezi, okukolagana n’oludda oluwaabi, okulaba ng’emisango gye, gitwalibwa mu kkooti zabulijjo.

Machete, y’omu ku basigala mu kkomera, oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okweyambisa obuyinza bwe mu  November, 2024, okusonyiwa abasibe 19 kw’abo 28 abali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu bye kinnamaggye n’ekigendererwa eky’okuvunika Gavumenti.

Machete yagaana okukiriza emisango ne banne okuli

Abdullah Kintu

Umar Emma Kato,   Musa Kavuma

Joseph Muwonge,   Jimmy Galukande

Ku basibe abali 9 abali ku limanda, Machete yekka yabadde afunye omukisa, okusaba kwe okutuuka mu kkooti enkulu, okulaba ng’ayimbulwa – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=235s